Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 120 listening Simba FM Live

Twagala kukyusa kifaananyi kya Police – Kayihura

October 24, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabaduumizi wa Police mu ggwanga General Kale Kayihura agamba nti baagala okukyusa ekifaananyi kya Police wamu n’okunyweza enkola yaayo naddala mu masoso goomu byalo , Kati awali obumenyi bw’amateeka obukudde ejjembe .

Kayihura okwogera bino asinzidde ku kyalo Zigoti ekiri mu ggombolola y’e Malangala mu Disitulikiti y’e Mityana ku mukolo gw’okuziika abavuzi ba Bodaboda babiri abattiddwa oluvannyuma lw’okukubwa ennyondo ne ppiki zaabwe nezitwalibwa ate nga bano bombi babadde baaluganda, Ssitenda Patrick ne Mukiti Sande.

Ssaabapoliisi agamba nti balina enteekateeka y’okulaba nga bakyusa enkola y’emirimu n’okunyweza ebyokwerinda, wabula agamba nga bbo bagezezzaako okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe naye ate waliwo abapooliisi abadda mu kuwuuta ebbidde.