Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 244 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Tusaba Bannayuganda bonna baziimuule era bazire omukolo ogw’e Kiboga ogw’okujaguza olw’okugikwatako – Ssekikubo

February 23, 2018 · Mubiru Ali

Ababaka mu Palamenti aba NRM abaakazibwako erya ba kyewaggula bagugumbudde era nebanenya bannaabwe bannakibiina kya Muuvumenta abaasalawo okuwagira eky'okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti  mu Ssemateeka wa Yuganda nga babanenya olw'okuteekateeka akabaga akabayozaayoza olw'okutuuka ku kiruubirirwa kino. 

Akabaga kano kagenda kubeerawo nga ennaku z'omwezi 25 omwezi guno ogwa Mukutulansanja e Kiboga ku ssaza Ground era nga Pulezidenti Museveni y'agenda okukabeerako nga omugenyi omukulu. 

Ababaka bano mu kunenya bannaabwe basinzidde mu  lukiiko lwa Bannamawulire era nga mubano mubaddemu Omubaka Theodore Ssekikubo, Omubaka John Baptist Nambeshe, Omubaka Mbwatekamwa wamu Patrick Nsamba Oshabe owa Kassanda ey'amambuka .

Omubaka Ssekikubo asinzidde wano n'asaba abantu okwewalira ddala enkungaana ezikubibwa abantu bano kubanga baayiwayo nnyo eddoboozi ly'abantu bwebaalonda eky'okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.