Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 306 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Tusaana okukolera awamu fenna okulwanyisa ssiriimu – Ssaabasajja Kabaka

July 31, 2017 · Mubiru Ali

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asabye abaami bonna okuba abeegendereza naddala mu nsonga z’obufumbo okwewala ekirwadde kya mukenenya ekikudde ejjembe ensangi zino. 

Ssaabasajja okwogera bino abadde ku  mukolo gw’amatikkira ag’emyaka 24 ng’ali ku Namulondo era nga emikolo gibumbujjidde ku kitebe ky’essaza ly’e Buweekula e Kaweeri mu Disitulikiti y’e Mubende. 

“Nga tujaguza Amatikkira, twagala okujjukiza abasajja n’abalenzi mu Buganda obukulu obw’okukuuma n’okutaasa ensi yaffe okuva mu matigga mweri olw’ensonga z’obulwadde. Tusaana okukolera awamu fenna okulwanyisa ssiriimu mu Buganda ne Yuganda okutwalira awamu “. Ssaabasajja Kabaka .