Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 854 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Tusa ekitiibwa mu nsalawo ya kkooti ku Ssebyara – UPDF

December 28, 2016 · Mubiru Ali

Eggye lya Yuganda livuddeyo nerirunngamya nti teriyisanga lugaayu mu nsala ya kkooti enkulu mu musango oguvunaanibwa munnamagye Cpl. Majibu Ssebyara mu kkoti y’ekinnamagye ku kulemererwa okukuuma ebintu by’amagye ebikozesebwa mu lutalo ekikontana n’amateeka agabafuga.

N’olwekyo UPDF egamba nti baafuna ensala ya kkooti enkulu nga eyimiriza kkooti yeekinnamagye okuwulira omusango guno kubanga waaliwo okutulugunyizibwa kw’ avunaanwa okuva eri abo abaali bakola okunoonyereza. Nabwekityo kkooti y’ekinnamagye n’eteeka ekitiibwa mu nsalawo ya kkooti enkulu era nayo neeyimiriza okuwulira omusango guno.

UPDF eyongerako nti mu kiseera kkooti enkulu weyaweera ensala yaayo, Ssebyara yalina emisango emirala nga ye egikwata ku by’okwerinda gyeyali awerennemba nagyo egikontana n’etteeka ly’amagye section 130 .

Mu kiwandiiko ekiteereddwako omukono omwogezi wa Magye ga Yuganda, ย Lt Col.Paddy Ankunda , webasinzidde okusaba abantu okubeera abagumiikiriza ku nsonga zino , obutavaayo nabigambo bino na biri kisobozese ab’amateeka okutambuza ensonga zino obulungi.