Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 192 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Tununula Yuganda efune obwetwaze obwannamaddala – Hon. Kyagulanyi

October 9, 2018 · Mubiru Ali

“Bwerwali bweruti nga 9 October 1962 eggwanga Yuganda nerizaalibwa. Nga linyirira era nga lirina eby’obuggaga ebitagambika lino lyeryali ekkula lya Africa nga lisuubiziddwa enfuga egoberera amateeka. Nga liri wamu yadde nga lirina Amawanga mangi ag’enjawulo, n’ekigendererwa kimu eky’okuzimba eggwanga eryeyagaza buli omu okusobola okutegekera omugigi ogujja. Ddala kituufu ffe mugigi ogwo, abazzukulu b’omugigi gw’obwetwaze, Ye Bajjaja b’emigigi egiggya. Tusaanye ffe Bannayuganda okufuna ekyokukola kuba abakulembeze baffe balabika tebafaayo ku migigi egiggya wabula balowooza ku kalulu akaddako.”

Eggwanga lyaffe Yuganda lyazaalibwa emyaka 56 egiyise. Lubadde lugendo olujjudde essanyu n’emiranga, essuubi n’okuyiibwa, okutuukiriza n’okulemererwa. Nga tujjaguza olunaku luno tusaanye tukimanye nti kiri eri ffe okulaba nti tununula Yuganda efune obwetwaze obwannamaddala. – Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine

#20thOctober
#KyarengaNamboole