Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 407 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Tunoonyezza Bwette naye talabikako – LOP Ssenyonyi

August 22, 2024 · Mubiru Ali
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi avuddeyo nategeeza nti bagezezzaako okuzuula Daniel Bwete eyaddukira mu Kkooti ku nsonga y’ensimbi akawumbi 1 mu obukadde 700 Bakamisona ba Palamenti zebegemulira nga akasiimo nga baagala okujjulira ku nsala ya Kkooti nti wabula ababuze nategeeza nti awo wandibaawo akazannyo mu Kkooti.
Ono awakanyizza ebibadde bitambuzibwa nti ensala ya Kkooti eno yatema Bakamisona 4 okuli; Mathias Mpuuga Nsamba, Solomon Silwany, Esther Afoyachan ne Prossy Akampulirwa, nga agamba nti singa bwekyali Kkooti yeyandiragidde Kkalaani wa Palamenti Adolf Mwesigye kubonerezebwa.
#ffemmwemmweffe