Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 284 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Tumukunde wakuvunaanibwa kulya mu nsi ye lukwe – Enanga

March 13, 2020 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi ngeri wamu n’ebitongole by’ebyokwerinda nga bikulembeddwamu Directorate of Criminal Investigations, bwebyakutte Lt. Gen. Henry Tumukunde ku byokulya munsi olukwe. Tumukunde yagiddwa Kololo era nga enkya yaleero bongedde okwaza offiisi ye okwongera okufuna obujulizi.
Tumukunde okukwatibwa kiddiridde ebigambo byeyayogedde ku mikutu egy’enjawulo Poliisi byegamba nti bisiga obukyaayi ekiyinza okuleetawo obutabanguko mu mawanga.
Kigambibwa nti yatuuse n’okusaba amawanga agatulinaanye okumuyambako okuvuniika Gavumenti eri mu buyinza mu kalulu oba mungeri endala.
Ono wakuvunaanibwa mu buwaayiro okuli; 23 (2) b ne 23 (3) b, obwa Penal code Act, obukola ku muntu akuma omuliro mu Bantu okulumba Yuganda wamu n’okukunga Abantu okukungaana.
Enanga yebazizza abenyigidde kukwata Tumukunde olwokuvaayo mu bwangu bwatyo nasaba Bannayuganda nti kino kibeere okyokulabirako eri abalala abalina endowooza yemu nga baagala okukozesa effujjo okutabangula eggwanga eritebenkedde.