Breaking
News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 320 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Tumukunde ne mutabani we banyiga biwundu lwa kukubwa kakebe ka tear gas.

March 1, 2016 · Mubiru Ali
Lt Gen. Henry Tumukunde.
Lt Gen. Henry Tumukunde.


Mutabani wa Tumukunde.
Mutabani wa Tumukunde.

Lt. Gen. Henry Tumukunde ne mutabani we banyiga biwundu oluvannyuma lw’okukubwa akakebe k’omukka ogubalagala.

Tumukunde abadde ne Mutabani we Amanya Tumukunde mu kavuvungano k’okutangira okubba akalulu  mu kiro ekikeesezza leero  mu kalulu k’okulonda omubaka anaakiikirira abavubuka mu bitundu by’ e  buvanjuba.

Mutabani wa Tumukunde Amanya  abadde avuganya ne mutabani wa Minisita Bright Rwamirama nga ye Mwine mpaka ku kukiikirira abavubuka mu bitundu by’e bugwa njuba era mu kiseera ky’okuddusa Tumukunde mu ddwaliro, Mwine Mpaka n’alangirirwa ku buwanguzi.