Tuleera ne Fuso bitomereganye e Masaka

Akabenje kagudde ku luguudo lw’e Maksa enkya yaleero Fuso bwetomereganye bwenyi ku bwenyi ne tuleera mu Nnyendo. Abaduukirize balwanye bwezizingirire okutaasa Abdul Sserunjogi abadde awagamidde wansi wa tuleela.
Abakozi okuva mu Uganda Red Cross Society bamutadde ku ccupa nga ali wansi wa tuleera era oluvannyuma basobodde okumuggyayo naddusibwa mu Ddwaliro lya Masaka refferal Hospital okusobola okufuna obujanjabi.

Leave a Reply