tukyawagira people power – Abed ne mabikke

Ekibinja kya Bannakibiina kya Democratic Party Uganda abakaddayo bavuddeyo nebawakanya ebibadde bibungesebwa nti bagobeddwa mu People power nti byappa. Bano kuliko Dr. Abed Bwanika okuva mu People Development Party (PDP), Mike Mabikke owa Social Democratic Party ne Samuel Lubega Mukaaku owa Truth and Justice nga bano babadde balabikira nnyo mu kisinde kya People Power.
Bano bagamba nti abo aboogera ebyo baagala kukutulakutula mu People Power ekitali kyangu nnyo. Mabikke ategeezezza nti bali ku mulimu ogw’amaanyi okununula eggwanga era nga nabamu ku bbo abali mu DP balina ku lukiiko olwawaggulu olwa People Power era nga ne Bobi Wine byalwanirira nabo byebalwanirira.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
tuteekwa okulonda – abatakisi