Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 152 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Tukomye okwonoona obutonde bwensi – Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga

December 26, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Kampuni eziyiiya zi yiiyeeyo ebintu ebirala ebikozesebwa okufumba nga bya sente ntono, kiyambe abantu okukomya okutema emiti okwokya amanda oba enku ezokufumbisa n’embaawo,  ekyonoonye obutonde bwensi n’okumalawo ebibira.

Ssaabasumba okusaba kuno akukoledde mu Misa ya Ssekukkulu ku Lutikko e Lubaga.

Ye omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi asinzidde mu kusaba kwekumu e Lubaga n’asaba bannayuganda okukuuma obutonde bwensi anti ebibira batitemye ekivuddeko ekyeya mu bitundu by’eggwanga. Ssekandi ayongerako anti abantu beekuulira kabazzi kkugulu bweboonoona obutonde bwensi.