Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 221 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

TUJJA KUMALAWO OBUMENYI BW’AMATEEKA NGA BWETUKOZE KWEZO EMBIZZI EZITAWA BULAMU BW’ABANTU KITIIBWA

October 24, 2021 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku kyabaddewo e Komamboga; “Bampitiddemu ku bbomu eyakubye abantu mu zooni ya Kwata e Komamboga. Bantegeezezza nti abantu 3 balese ekitereke mu kaveera ekyayabise oluvannyuma ekyaviiriddeko omuntu omu okufa n’abalala 5 nebalumizibwa.
Kirabika nga ekyakoleddwa abatujju naye tujja kubafuna. Abakugu mu Uganda Police Force webali mu kitundu era bakola okunoonyereza. Bajja kutubuulira ebisingawo gyebujjako.
Poliisi ejja kubawa ebyokugoberera okusobola okulwanyisa obutujju bwebubaawo.
Bannayuganda temusaanye kutya, tujja kulwanyisa obumenyi bw’amateeka tubumalewo nga bwetuzze tuwangula embizzi ezo ezitawa bulamu bw’abantu kitiibwa.”