Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 184 listening Simba FM Live
News

Tugenda kutimba olukalala lwabo abatadde emikono ki kiwandiiko kyaffe – Hon. Ssekikubo

June 4, 2024 · Mubiru Ali

Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) avuddeyo neyegaana ebigambibwa nti bayisa akawumbi 1 mu obukadde 700 nga akasiimu ka Bakamisona wamu n’omusaala gwabwe ogwobukadde 23. Ono asabye abo ababyogera okuvaayo baleete obujulizi.
Bino Ssekikubo abyogeredde ku Palamenti bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ngayanukula ekiragiro ekiyisiddwa omumyuuka w’omwogezi wa kabondo k’Ababaka ba National Resistance Movement – NRM Herbert Kinobere, ekyababaka ba NRM obutateeka mikono ku kiwandiiko kye okutuusa nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abawadde ekyokukola.
Ssekikubo ategeezezza nti agenda kuba nga atimba olukalala lw’Ababaka abataddeko emikono kiwandiiko kino.