Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 558 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Tugenda kugondera ekiragiro kya Kkooti okuva ewa Bobi Wine – CP Fred Enanga

January 25, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo ku kusalawo kwa Kkooti Enkulu mweweeredde ensala yaayo neragira Poliisi n’amaggye okuva mu maka ga Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine. Enanga agamba nti bagenda kuvaayo mu maka ge mubunnambiro singa banaaba bafunye ekiwandiiko ekitongole okuva mu Kkooti.
Enanga asabye Kyagulanyi okugoberera ebiragiro ebinokoddwayo Kkooti okubeera nga agoberera SOPs ezateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19, nti era Poliisi yakumuteekako eriiso ejogi okulaba nti takuma muliro mu Bannayuganda okwenyigira mu bikolwa eby’effujjo.