Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 274 listening Simba FM Live

Tugenda kufaafaagana n’enguzi – Museveni

May 12, 2016 · Mubiru Ali

Pulezidenti Museveni olumalirizza okukuba ekirayilo n’akakasa eggwanga ย nga mu kisanja kino bwagenda okufaafaagana n’obuli bwenguzi obufumbekedde mu ggwanga naddala mu bakozi ba Gavumenti.

Museveni ayongedde okukakasa nti ku mulundi guno eggwanga ligenda kulaba omuyeekera kyekki.

Bino abyogedde oluvannyuma lw’okulayira ku kisanja kye ekyokutaano mu kisaawe ky’ebijjukizo e Kololo omukolo ogwetabiddwako abakulembeze ba amawanga agasoba mu 15, omubadde Jacob Zuma – South Africa, Uhuru Kenyatta – Kenya, John Pombe Magufuli – Tanzania, Robert Mugabe aka Zimbabwe, Omar El Bashir aka Sudan n’abalala nga mwotwalidde ne bannayuganda omukolo abagwose obuliro.