Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 745 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Tubaboole abo ababba akalulu k’e Kayunga – Hon. Ttebandeke

December 23, 2021 · Mubiru Ali
Abakulembeze b’Ekibiina kya National Unity Platform – NUP mu Disitulikiti y’e Kayunga nga bakulembeddwamu Omubaka wa Palamenti ow’essaza ly’e Bbaale Hon Charles Tebandeke, abadde sentebe omubeezi owa Disitulikiti y’e Kayunga Mw. Kayiira Joel, Muky. Harriet Nakwedde awamu ne Ssentebe w’ekibiina kino Mw. Ojjambo Ben Moses kwotadde ne Bakansala 6 okuva mu kibiina kino ekya NUP, nabuli kati bakyawakanya awamu n’okuvumirira ekikolwa eky’okulayizibwa kw’omwami Andrew Muwonge ku bwa Ssentebe bwa Disitulikiti y’e Kayunga.
Bano bagamba nti ekifo kino kyabanyagidwako National Resistance Movement – NRM. Bano era basabye Bannakayunga baboole abo bonna abenyigidde mu kikolwa kino eky’okunyaga obuwanguzi bwabwe.
Omubaka Charles Tebandeke atongozza enkola gyatuumye tubaboole bonna abenyigira mu kikolwa kino eky’okunyaga obuwanguzi bwa Muky. Harriet Nakwedde awamu ne kibiina kyonna ekya NUP.
Bya; Kato Vincent