Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 372 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Town Clerk ne Town Council Engineer aba Wakiso Town Council bakwatiddwa

May 14, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu Maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force kakutte Town Clerk Livingston Mukalazi ne Town Council Engineer Ssebugwowo Laurence aba Wakiso Town Council ku bigambibwa nti bakozesa bubi ensimbi obukadde 45 ezaali eza COVID19, okusuulirira emirimu gyabwe wamu n’okukola emirimu mu ngeri eyagadibe ngalye.
Kati abakozi ba Gavumenti abakakwatibwa baweze 12 mu kulondoola emirimu gya Gavumenti okugeda mu maaso nga kukolebwa akulira Akakiiko akalwanyisa enguzi Brig. Gen. Henry Isoke ne Minisita Ogwanga.