Breaking
News: Eyaliko Loodi Mmeeya era Munnamateeka Erias Lukwago asabye Kkooti emukirize agende e Buyindu alongoosebwe. News: Omulamuzi wa Kkooti etuula e Makindye asindise eyali Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago mu Kkooti Enkulu atandike okuvunaanivwa News: Eyaliko Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomezeddwawo mu Kkooti yOmulamuzi etuula e Makindye.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,010 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM
News

Town Clerk agambibwa okubba obukadde 414 addukidde China

May 12, 2023 · Mubiru Ali
Ryakarimira Town Council Assistant Town Clerk, Alex Ampeire, ngono kigambibwa nti yabulankanya obukadde bw’ensimbi 414.28 adduse mu Ggwanga nayolekera Eggwanga lya China okusinziira ku Anti Corruption Unit – State House Uganda eyeddizza okunoonyereza kuno.
Ryakarimira Town Council esangibwa mu Ndorwa West County, mu Disitulikiti y’e Kabale. Kigambibwa nti Ampeire yaggya obukadde 105 okuva ku akawunti ya Town Council, ezalina okusasulwa kkontulakita wa FAMDEC Technical Services Limited oluvannyuma lwokumaliriza emirimu egyokuzimba multipurpose hall wabula tezamuweebwa.
Ono oluvannyuma yakiriza nti ensimbi zino yazikozesa ebintu bye era nasuubiza okuzizza. Okunoonyereza era kwalaga nti Ampeire yaggyayo ssente mu nkukutu obukadde 249.28 nga zino zaali za Pulojekiti ez’enjawulo okwali ezokukola enguudo, ensako yaba Ssentebe ba LC1 ne LC2, okuzimba ennyumba z’abakozi n’endala.
Abakungu okuva mu State House Anti-corruption Unit bwebakyalako ku kitebe kya Town Council bakizuula nti mu mwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 Ampeire yasaasanya obukadde 60 kukusereka ennyumba z’abakozi so nga zino zaalina okumenyebwa olw’embeera gyezaalimu.