Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 59 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Teweetaaga buyigirize bwonna okuvuganya ku LC1 – EC

August 24, 2017 · Mubiru Ali

Akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza enteekateeka z’okulonda kw’obukiiko bw’ebyalo wonna mu ggwanga era kugenda kubeerayo nga 21 Museenene omwaka guno era kwakusimba mu mugongo .

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga, Omulamuzi Simon Byabakama bwabadde alangirira enteekateeka eno leero mu Kalasamayanzi ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala, agambye nti tebagenda kwetaaga buyigirize bwonna wadde omunwe gw’ensimbi n’ogumu era tekugenda kubaako kkomo lya myaka eri ano abaagala okwesimbawo.ย 

Byabakama era agamba nti okulonda kugenda kutwala eddakiika asatu gokka ng’abantu basimba mu mugongo gw’oyo gwebawagira, wabula abo abanaatuuka nga okubala kutandise tebagenda kulonda.

Ssentebe mu mbeera y’emu n’ategeeza nti okulonda kugenda kuba kwa ba Ssentebe bokka era anaaba awangudde y’agenda okwelondera ab’akakiiko ke wabula nga baakukakasibwa abatuuze. ย