Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 239 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Tewali muntu yenna yazzeemu kubuzibwawo okuva lwetwava mu kalulu – DIGP Maj. Gen. Tumusiime

November 14, 2023 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force Maj Gen. Geoffrey Tumusiime Kastigazi akubye bituli mu by’ekiwamba bantu ab’oludda oluvuganya byebagamba n’ategeeza nti abantu aboogerwako baakwatibwa mu biseera bya bululu era Poliisi yavaayo dda ne alipoota ennambulukufu ku nsonga eyo kyokka ab’oludda oluvuganya basigala bagikomyawo buli kadde nga bakikozesa okuzannya eby’obufuzi byabwe.
Okusinziira ku Maj Gen. Kastigazi okuva okulonda lwekwaggwa, tewali muntu yenna yali azzeemu kukwatibwa mu ngeri atategeerekeka nga ab’oludda oluvuganya bwebagamba.
Ono ayongerako nti wabula bwewanaabaawo obwetaavu bajja kuddamu bakole okunoonyereza bafulumye alipoota empya.
Kastigazi agamba bbo nga Poliisi beteefuteefu okukwatagana n’aboludda oluvuganya okuzuula abantu bebalumiriza okuwambibwa wabula ekisinga okubamalamu amaanyi, ab’oludda oluvuganya bamanyi okuleeta amannya g’abantu abo nga ebibakwatako sibirambulukufu bulungi.
Okusinziira ku Maj Gen. Kastigazi oluusi bamanyi n’okubawaako erinnya ly’omuntu limu lyokka mbu bbo bazuule gyali olwo nebasoberwa kubanga tosobola kunoonya muntu ga tomanyi bimukwatako mu bujjuvu.