Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 243 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Tewali alwayisa Paul Mwiru mu FDC – Salam Musumba

February 20, 2018 · Mubiru Ali

Amyuka omukulembeze w'ekibiina ki FDC mu bukiika kkono bwa Yuganda, Proscovia Salaam Musumba asambazze engambo ezibadde zitandise okuyitingana nti waliwo okulwanagana mu ba Memba b'ekibiina naddala mu kuwagira Paul Mwiru nga ono y'akutte bendera y'ekibiina kya FDC mu kalulu k'okujjuza ekifo ky'ombaka mu Palamenti owa Jinja ey'obuvanjuba. 

Bw'abadde ayogerako ne Bannamawulire e Jinja, Salaam Musumba agambye nti bino ebiboogerwako babasibako matu ga mbuzi kubaliisa ngo kubanga bbo balina enkolagana ennungi ne Paul Mwiru eyeesimbyewo era nti aba FDC bonna baatuuse dda mu Jinja okuwagira omuntu waabwe nga bamuwenjeza akalulu.