Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 233 listening Simba FM Live

TETUNAKUBA KU BANTU MASASI E NAKASEKE – POLIISI

August 26, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettunduttundu lya Savannah ASP Ssemwogerere Isah avuddeyo ku bibadde e Nakaseke; “Enkya yaleero nga 26 August 2021, Ababaka ba Palamenti okubadde owa Nakaseke Central, Hon. Allan Mayanja, Mukyala Barbie Kyagulanyi n’abalala ababadde baagala okutonera eddwaliro lya Kikamulo Health Centre III e Nakaseke.
Nga abebyokwerinda tubawabudde nti bakwatagane ne District Covid 19 task force eye Nakaseke, e Butalangu abajja okutuusa ebintu bino ku Ddwaliro.
Bano ababiri bagaanye okukwatagana naffe nebatandika okuyita abawagizi baabwe mu bungi nebayingira eddwaliro ekikontana n’ebiragiro ebyateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19.
Kino kituwalirizza okukozesa amaanyi amatonotono okubagumbulula nga tukozesa omukka ogubalagala. Ebyogerwa nti waliwo abantu 2 abakubiddwa amasasi si bituufu.”