Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 516 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Tetugenda kwenyigira mu ntuula za Palamenti ezomubitundu – LOP Ssenyonyi

August 6, 2024 · Mubiru Ali
Ababaka mu Palamenti okuva ku ludda oluwabula Gavumenti bakombye kwebaza eriibwa nti kikafuuwe tebagenda kwetaba ntuula za Palamenti ezigenda okutambuzibwa mu bitundu by’Eggwanga ebyenajawulo. Okuva nga 28 August okutuusa nga 30 entuula za Palamenti zakutandikira mu Kibuga Gulu olwo entuula endala zitwalibwe mu bitundu ebirala.
Mu lukiiko lwa Bannamawulire olwayitiddwa akulira Oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi ategeezezza nti entuula zino zigendereddwamu kwonoona nsimbi ya muwi wa musolo kyebatakiriziganya nakyo.
Entuula za Palamenti ezigenda okutambuzibwa mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo kigambibwa nti buli lutuula lwakusaasanyizibwako obuwumbi 5, ab’oludda oluwabula Gavumenti kyebagambye nti okusinziira ku byenfuna y’Eggwanga kuba kwonoona nsimbi ya Munnayuganda.
Bya Barbara Nabukenya
#ffemmwemmweffe