Teri mmundu zebasanze mu wooteri balimba – Luigi Candia

Luigi Candia nannyini wooteri Pacific esangibwa mu Arua nga muno omubaka Kyagulanyi wamu n’abantu be mwebakwatiddwa ku Monday olw’eggulo avuddeyo nawakanya Poliisi byegamba nti yasanze emmundu mu kisenge omubaka mwabadde asula.

Luigi agamba nti bino byonna bifu nnyo era ab’ebitongole ebyebyokwerinda bayagadde ku bikirira okwonoona ebintu bye wamu n’obubbi bwebakoze nga bafuuze kisenge ku kisenge.

Agamba nti amaggye gakubye abakozi be, bamenye enzigi, ebibajje wamu n’okubba ensimbi za ba Kasitoma be ezisoba mubukadde 80.

Ono agamba nti akyawandiika ebyayononeddwa abamaggye okuva akawungeezi ka bbalaza okutuuka ku lw’okubiri mu ttuntu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
bakutte omuyizi w’e makerere lwabubbi