Teri kivvulu kya valentine kigenda kubaayo – Patrick Oyango

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddyo ku lunaku lwa Valentine; “Tusomye, tuwulidde era netulaba obulango obw’enjawulo nga bulanga obubaga mu bifo ebyenjawulo nga wooteeri, biici n’ebifo ebirala nti bagenda kujagulizaayo olunaku lw’abagalana nga 14-February.
Ebiragiro bya Ministry of Health- Uganda bikyakola ne bya Ssenyiga omukambwe owa COVID-19 ebiri mu biragiro bya Public Health (Control of COVID-19) rules, 2020, ebyateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kino bikyakola.
Twagala okulabula abategesi bobubaga buno okwewala okumenya amateeka era netukubiriza ne Bannayuganda okuvaayo batutegeeza ku kabaga oba ekivvulu kyonna ekitegekeddwa nga kimenya ebiragiro bya COVID-19.
Tulabula n’abantu bonna abanabeera ku bivvulu ebyo nti bajja kukwatibwa bavunaanibwe.”

Leave a Reply