Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 153 listening Simba FM Live

Teri Ddereeva ajja kukirizibwa kuyingira mu Kenya nga alina COVID-19

May 16, 2020 · Mubiru Ali

Pulezidenti wa Kenya Uhuru Kenyatta avuddeyo nategeeza nti Ba Ddereeva bonna ab’emotoka ez’emigugu kati kyabuwaze okusooka okuberebwa obulwadde bwa #COVID-19 nga era bakukirizibwa okuyingira Kenya nga ebivuddemu biraga nti tebalina bulwadde buno.
Kenyatta agamba nti ba Ddereeva 78 nga si Bannansi ba Kenya bebakeberebwa nebazuulibwa n’obulwadde bwa COVID-19 era nebagaanibwa okuyingira Kenya nti singa bano baali tebaganiiddwa balibadde bongedde ebitundu 50 ku balwadde bebalina mu Ggwanga.