Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 130 listening Simba FM Live

Teri agenda kuggala Kampala lwa Ebola – Dr. Atwine

October 30, 2022 · Mubiru Ali
Minisitule y’Ebyobulamu evuddeyo negumya Bannayuganda nti ekyokuggala eggwanga tekisaanye kubatunduzza mitima kuba birowoozebwa okukolebwa tekirimu bwebatyo nebasa abantu obutagendera ku ngambo zitambuzibwa wabula amaanyi bagasse mu kwerinda kirwadde kino obutasaasaana.
Omuteesiteesi omukulu mu Minisitule y’Ebyobulamu Dr. Diana Atwine agamba tozuukuka buzuukusi eggwanga n’olissa ku muggalo nga waliwo emitendera egirina okugobererwa. Bino webigidde ng’omuwendo gw’abantu abazuuliddwa n’ekirwadde kya Ebola mu Kampala gwongedde okulinnya.