temutwalibwa muyaga gwa people power – rdc

Omubaka wa Pulezidenti mu Disitulikiti y’e Ssembabule Mathius Kintu asabye Bannayuganda obutatwalibwa muyaga gwa byabufuzi ebiriwo ensangi zino ebya “People power” ebikulemberwa omubaka wa Kyaddondo East Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine byagambye nti balina okubyegendereza ennyo olw’ebigendererwa byabwe ebitannategeerekeka n’abasaba bawagire Gavumenti olw’enkulaakulana gyetaddewo mu bitundu naddala mu masoso g’ebyalo okuli enguudo, amasannyalaze n’ebyobusuubuzi.
Okwogera bino abadde akwasa abatuuze b’e Ntuusi- Kalushonshomezi mu ggombolola y’e Bulongo mu Disitulikiti y’e Ssembabule oluguudo olukoleddwa Disitulikiti nga lubadde mu mbeera mbi olw’ebinnya ebirubaddeko.
Yinginiya akuliddemu okukola oluguudo luno Tumushabe Benson ategeezezza nti luweza kilomita 16 nga luwemmense obukadde 37 nga lukoleddwa Ku mutindo n’asaba abatuuze okubeera nga balukolako Bulungibwansi luleme okwonooneka amangu

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Musajja mukulu myaka 67 yeesaze obulago n’afa – Luweero