Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 173 listening Simba FM Live
News

Temumpeereza nnyimba zammwe nfuna ssente ezimmala – Minisita Babalanda

May 19, 2023 · Mubiru Ali
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Obwapulezidenti, Hon Milly Babirye Babalanda avuddeyo nasaba ba RDC neba RCC okukomya okumuguliriranga nga bamuweereza ssente ezitaliiko nsonga nnambulukufu lwaki bazimuwa.
Ono abajjukiza nti mumativu n’omusaala gw’afuna nga teyeetaga muntu yenna kubaako kyamuwa. Okwogera bino abadde yeetabye mu musomo gw’aba RDC ogwategekeddwa mu bitundu by’e Kigezi ne Ankole okubabangula ku nkola y’emirimu.