Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 378 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Temulowooza ku kwekalakaasa – ASP Luke Owoyesigyire

March 30, 2021 · Mubiru Ali
TEMULOWOOZA KU KWEKALAKAASA KWONNA:
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwekitegeddeko nti waliwo abasaasanya ebipapula nga bikubiriza abantu okwenyigira mu kwekalakaasa naddala abategesi b’ebivvulu, abayimbi, Bannakatemba wamu n’abayimbi okwenyigira mu kwekalakaasa olunaku lw’enkya ku National Theater mu kibuga Kampala.
Poliisi egamba nti wadde nga okwekalakaasa ddembe lyabuntu, abategesi balina okugoberera ebirina okuyitwamu okwekalakaasa. Mu kiseera kino nga wakyaliwo ekirwadde kya #COVID-19 enkungaana zino zayimirizibwa Ministry of Health- Uganda
Poliisi egamba nti yakuyimbula abasajja baayo abawanvu n’abampi okulaba nti eyimiriza enteekateeka zonna.