Breaking
News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 193 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Temulonda Ssentebe atalina kabuyonjo

July 3, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka omukyala owa District ye Masaka Mary Babirye Kabanda alabudde abantu obutageza nebalonda ssentebe w’ekyalo nga talina maka wadde kabuyonjo.
Kabanda okwogera bino asinzidde ku kitebe kya District e Masaka bw’abadde asisinkyanye basentebe ababadde bazze okufuna akasiimo kaabwe okuva mu gavumenti.

Kabanda agamba nti abalonzi tebanditunuulidde bibiina wabula
obusobozi n’amaka amalungi n’agamba nti ssentebe apangisa ajja kufuukira abatuuze ekizibu naddala mu kaseera nga amwetaaga.
Ssentebe wa District eno Jude Mbabaali agamba nti bateeseteese okusomesa basentebe abanaaba balondeddwa wakiri bakuguke mu bukodyo bw’okusala emisango ng’egimu kumirimu egibalindiridde.