Breaking
News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 344 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Temugeze nemukuba enkungaana nga temufunye lukusa – Enanga

March 21, 2023 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nalabula Bannabyabufuzi abalowooza nti bagenda kukozesa ekiragiro kya Kkooti Etaputa Ssemateeka eky’okusazaamu obuwaayiro namba 5 ne 10 ku tteeka erifuga enkungaana erya Public Order Management Act nti beerimba.
Enanga agamba nti Poliisi eri bulindaala okukwata Munnabyabufuzi yenna singa anavaayo okutaataganya emirembe gy’Eggwanga era bakyalina obuyinza bwonna okulinnya eggere mu nteekateeka zonna ezinaaba zitegekeddwa wabweru w’amateeka.