Breaking
News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya News: Eyaliko Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among olunaku lweggulo yalabiseeko mu lutuula lwa Palamenti oluvannyuma lwenaku 83, ngayita ku mukutu News: Tosubwa concert ya Ray G ku Sunday eno nga 9 August ku kisaawe e Kololo.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 435 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Temuddamu kumpita mubyakisiru byammwe nga mu malwaliro temuli ddagala – Hon. Alaso

May 4, 2022 · Mubiru Ali
Omukwanaganya w’emirimu mu Kibiina kya Alliance for National Transformation-Uganda – ANT Hon. Alice Alaso avuddeyo nasaba omuduumizi w’eggye lya UPDF eryokuttaka Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba okudda eri Mukama Katonda akirize Yesu ng’omulokozi we nga obudde tebunamuyitako kuba buli muntu wakuvunaanyizibwa kwebyo byakoze ku nsi ng’omuntu.
Alaso okwogera bino kidiridde okuweebwa kkaadi emuyita ku kabaga ka mazaalibwa ga Muhoozi mu Disitulikiti y’e Soroti naategeeza nti tayinza kwetaba ku kabaga ka kika kino nga mu Malwaliro temuli ddagala so ng’ensimbi y’omuwi w’omusolo egwera mu bintu bya kika kino ebitalina makulu.