Takisi esse basatu

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Taxi egoyeza abasaabaze netta 3 abalala 9 nebasimattuka nebisago ebyamaanyi. Akabenje kano kaguddewo ku saawa 4;00 ez’okumakya mu kitoogo ky’e Kalandaazi wakati wa Mitala Maria ne Kyabadaaza takisi namba UBE 689B ebadde eva e Kyotera ngedda Kampala bw’eyabise omupiira ne yeefuula emirundi esatu ababasaabaze abagibaddemu ne bamenyeka amagulu era abasatu ne bafiira mu ddwaaliro e Nkozi nga bakatuusibwayo.
Abafudde kuliko kondakita wa takisi eno Fred Ssemulangwa 29 omutuuze w’e Kyotera, Joy Mulungi 22 nga naye mutuuze w’e Kyotera kyokka omulala tanategerekeka mannya.
Abalumiziddwa kuliko Prossy Nabunya 26 omutuuze we Gayaza ngono amenyese amagulu n’okufuna ebisago ebyamaanyi ku mutwe, Job Musasire 21 ow’e Kalungu, Jane Namugerwa 40, Noor Nakazibwe 30 ow’e Kayabwe mu Mpigi, Deo Kateregga ne Javiira Kisekulo muto wa ssentebe we Kyotera era abali mu mbeera embi bongeddwaayo mu ddwaliro ekkulu eMulago.
Okusinziira ku omu kubasimattuse akabenje kano, Javiira Kisekulo ategezeza nti akabenje kaavudde ku mupiira gwa mmotoka eno ogw’emabega ogwa sipeeya ddereeva gwataddeko nga ba guide ba takisi ab’e Nyendo baabizza ogubaddeko omupya olw’okuyimirira n’attikawo omusabaaze nga tebamukkirizza.

Share.

Leave A Reply