Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 260 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Takisi ekoonye omuserikale wa Police n’akalirawo – Jinja

August 24, 2016 · Mubiru Ali

 

Omuserikale wa Police nga mukazi akoonedwa Kamunye naafiirawo enkya ya leero e Jinja ku Lutindo lw’omugga Kiyira.

Afande Nakayiza abadde asotta akagaali ng’aweese emmundu ye agenda ku mirimu okuva e Njeru ng’adda  Jinja kamunye etetegeerekese nnamba evudde emabega n’emukoona n’akalirawo.

Aduumira Police e Jinja Felix Mujizi agamba nti abatuuze ababadde okumpi bagezezzaako okumuyoolawo balabe nga bataasa obulamu bwe naye nga yamazeemu dda.

Afande Mujizi agamba nti Police etandikiddewo okuyigga omugoba wa mmotoka eno akoonye omuntu n’adduka era bw’agombebwamu obwala kaakumujjuutuka.

Ggwo omulambo gwa Afande Nakayiza gutwaliddwa mu ddwaliro e Jinja. Kitalo.