Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 207 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Takisi ekoonye 2 abatuuze nebagikumako omuliro – Butaleja

April 4, 2017 · Mubiru Ali

Police mu Disitulikiti y’ e Butaleja eri ku muyiggo gwa batuuze abaakumye ku Takisi nabbambula w’omuliro nga akabasa kava ku kutomera abantu babiri mu kitundu kyabwe nebalumizibwa byansusso.

Bino bibadde ku kyalo Namagi mu ekisangibwa mu Ggombolola y’e Mazzimassa ku luguudo oluva e Mbale okudda e Busolwe.

Omwogezi wa Police mu Bukedi Kamuliya Soali ategeesezza omusasi waffe mu kitundu ekyo Waki Moses nti abatuuze basazeewo ekiruyi okukimalira ku mmotoka oluvannyuma lw’omugoba waayo okuteekako kakokola tondeka nnyuma .