Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) olunaku lw’eggulo kyatongozza omupiira ogunasambibwa mu mpaka zonna ez’omupiira eziri wansi waakyo ngomupiira guno gwatuumiddwa Zakayo okujjukira ezike erigambibwa okuba nga lyeryali lisinga obukulu mu Uganda eryali limanyiddwa nga Zakayo eryafa mu 2018.
#itallstartswithaball
Omusuubuzi w’omu Kampala, Godfrey Kirumira era Ssentebe w’ekibiina kya Abagagga Kwagalana akakasiddwaa ng’Omubaka w’Eggwanga lya Namibia mu Yuganda “Honorary Consul”.
Empapula ezimukakasa ku bukulu buno azikwasizza omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga,
Okello Oryem n’amusaba okunyweza obwasseruganda wakati w’amawanga gombiriri.
Omwoleso gwebyobulamu ogwokumutimbagano ogwatuumiddwa
#ugandahealthexhibition gukyakwajja nga guno gwategekeddwa Dr Jimmy Spire Ssentongo aka
Spire Cartoons . Naawe osobola okuteeka wano ekifaananyi ekiraga embeera Eddwaliro lya Gavumenti gyeririmumu kitundu kyo. Wabula wewale okukozesa ekifaananyi ekikadde.
Waliwo n’obubaka obutambula obulaga nga abakulira amalwaliro bwebalagiddwa okuyonja amalwaliro, okufaayo okulaba nti abalwadde bafiibwako, abasawo okubaawo mu budde, okwewala omujjuzi webatuukira n’ebirala nti era kino kiyambye okutereeza embeera.
Omubeezi wa Minisita era Omubaka Amos Lugoloobi atuuse mu Kkooti ewozesa abalyaake n’abakenuzi esuubirwa okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa e Kololo. Ono avunaanibwa ogw’okukozesa bubi amabaati agaali agabantu abayinike ab’e Karamoja agamuweebwa nagaseresa ebiyumba byebisolo bye ku ffaamu ye.
Abakuuma sitoowa ya Offiisi ya Ssaabaminisita esangibwa e Namanve bagaanye okukwata amabaati agaddiziddwayo abakiikiridde Nampala w’Ababaka ba Gavumenti Hamson Obua ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba nga entabwe eva ku bambega ba Uganda Police Force abalina okwekeneenya omutindo gwago wamu n’obungi obutabaawo ku sitoowa olwaleero.
Bano bombi babadde bakomezzaawo buli omu amabaati 300 gebaali bafuna.
Wabula agali mu nkuubo ezesigika galaga nga ba CID bwebamaze okukola ku fayiro za Baminisita 4 okuli; Matia Kasaija, Oboth Oboth ne Hamson Obua neziweerezebwa DPP.
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e karamoja Hon. Agnes Nandutu asindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira okutuusa Kkooti Enkulu gyasindikiddwa okuwulira emisango gye bwenamuyita ku misango gyokukubeera n’ambaati agabulankanyizibwa negakyuusibwa gyegali galaga e Karachunas mu Karamoja Subregion.
Nandutu Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Bududa yalondebwa okubeera Omubeezi wa Minisita mu June 2021 yayitibwa mukama we Mary Goretti Kitutu namuwa amabaati 2000 okugagabira abantu abaali bakoseddwa amataba e Bududa era nga gamuweebwa Abaho Joshua Omuwandiisi mu Offiisi ya Ssaabaminisita nga naye anoonyezebwa. Kigambibwa nti ku mabaati 2000, amabati 1679 gegafuniddwa nga amalala 221 Nandutu yalemereddwa okunnyonyola wa gyegalaga.
Minisita Nandutu taweereddwa mukisa kusaba kweyimirirwa yadde nga Minisita banne n’Ababaka ba Palamenti babaddewo okumweyimirira. Ono asindikiddwa ku alimanda okutuusa Kkooti Enkulu gyasindikiddwa okuwulira emisango gye bwenamuyita.
Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ngatwalibwa mu Kkomera agambye; “Nzikiriza nti bambatizza na muliro naye ndi mugumu. Naye lwaki basindise mu Kkooti Enkulu so nga Kkooti eyawansi (Anti-Corruption) erina obuyinza okuwulira omusango ogunvunaanibwa?”
Kitalo!
Eyali Governor wa Kampala Rtd. Lt. Col. Abdullah Nasur 77, afudde. Nasur yafiiridde mu Ddwaliro lya Victoria Hospital mu Kampala akawungeezi k’eggulo.
Nasur, yali musirikale mu Uganda Army yazaalibwa mu 1946 e Nakatonya, Bombo, Uganda.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ki
Uganda National Roads Authority – UNRA kifunye emotoka empya ezigenda okukozesebwa okukola n’okuddaabiriza enguudo okwetoloola Eggwanga lyonna.
Kino kidiridde embeera y’enguudo mu Ggwanga naddala mu kibuga Kampala okwongera okwonooneka.