Musisi Bbosa Nseregganyi ey’eddira Endiga ye Ssengule wa Radio Simba omwaka 2022 n’Endukusa ye Kawooya Kelvin y’Endukusa esinze endala zonna okukungaanya obubonero obungi ku mpaka ezakamalirizo e Lugogo. Bbosa yewandulidde ensimbi okuva mu Radio Simba ne KCB Bank Uganda, Solar gagadde okuva mu DT Solar, Ettaka n’ekyapa okuva mu Century Properties Limited, ye Kelvin yewangulidde ensimbi okuva mu Tayali curry powder.
Bannakoodikoodi nga banyumirwa obulamu mu kkuumiro ly’entugga lye bayita “Giraffe Centre” eriri mu kibuga Nairobi. Enkya ya leero boolekera Mombosa nga bagenda kutambulira mu “Standard Gauge Railway.”
Abakontanyi abatuuse ku mpaka ezakamalirizo okuli; Musisi Bbosa Nseregganyi (Ndiga), Nampyangule Kisirisaafumba (Lugave) ne Ssempijja Nyasio Njakabwasi (Nte) bali mu lugendo lwa Kkoodi Kkoodi mu Ggwanga lya Kenya. Balindirire e Lugogo nga 4-December-2022.
Pulezidenti w’ensi ya Neyimbira Byange 2022/23 H.E Nambajjwe Suzan aka Chocolate olunaku olwaleero akwasiddwa ekisawo kye ekyensimbi ng’omuwanguzi wa Neyimbira Byange. Nabalala abatuuka ku mpaka ezakamalirizo nabo baweereddwa amabaasa.

