Hon. Mwijukye Francis (Buhweju MP) ngayakiikiridde akulira Oludda oluwabula Gavumenti ategeezezza Palamenti nga bweyewuunyizza Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala okuyisa ekiragiro ekifuula okukuba ebifaananyi by’ebinnya ebiri mu nguudo za Kampala omusango nga agamba nti bino kyakutiisa abalambuzi baleme kujja mu Ggwanga.
Hon. Mwijukye ategeezezza Palamenti waliwo abantu abakwatiddwa olwokukuba ebifaananyi nasaba nti kino kigonjoolwe okusinga okukifuula omusango.
#KampalaPotholesExhibition
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ki Uganda National Roads Authority – UNRA kifunye emotoka empya ezigenda okukozesebwa okukola n’okuddaabiriza enguudo okwetoloola Eggwanga lyonna.
Kino kidiridde embeera y’enguudo mu Ggwanga naddala mu kibuga Kampala okwongera okwonooneka.

