Omuserikale wa Uganda Police Force, PC Ivan Wabwire eyakuba Munnansi wa Buyindi omuwozi wa ssente Uttam Bhandari amasasi agaamuttirawo bwabadde aleetebwa ku Kkooti ya Buganda Road enkya yaleero okutandika okuwerenemba n’omusango gw’obutemu.
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road, Sarah Tusiime Bashaija asindise omuserikale wa Uganda Police Force PC Wabwire Ivan eyakuba omuyindi omuwozi w’ensimbi Uttam Bhandari amasasi agamuttirawo ku Raj Chambers mu Kampala ku Alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 7 omwezi ogujja.
Omuwaabi wa Gavumenti Joan Keko ategeezezza Kkooti nti bakyabuzaayo okunoonyereza kwa mulundi gumu okukulu ennyo okuzuula oba nga Wabwire ategeera bulungi alyoke avunaanibwe.
Oluvannyuma Wabwire wakusindikibwa mu Kkooti Enkulu avunaanibwe ogwobutemu.
Omusirikale wa Uganda Police Force Police Constable Ivan Wabwire avunaanibwa ogwokutta omuwozi w’ensimbi mu Kampala olunaku lw’eggulo yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi nakirizza okutta Munnansi wa Buyindi nga agamba nti yali amulanga kumunyaga nga amubala omufuulo nti era tayejjusa kukikola.
Wabwire yakwatiddwa Busia nga agezaako okufuluma Eggwanga okwolekera Kenya yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road okukola extra-judicial statement eyekuusa ku butemu. Oluvannyuma Wabwire yaziddwayo mu CPS.
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga yategeezezza nti kwo okwekebejja okusooka okwakoleddwa Omusawo wa Poliisi ku Wabwire bakizudde nti talina buzibu bwonna ku bwongo wabula yategeezezza nti ono agenda kwongera okwekebegyebwa psychiatric alabe entegeera ye.
Enanga agamba nti mu 2020 Omuyindi Uttam Bhandari yawola Wabwire akakadde 1 nga kaliko amagoba ga mitwalo 32, nti wabula yali tanazimalayo, yaddayo neyewola era akakadde 1 nga amagoba gegamu, nti era weyamutidde yabadde yakazzaayo ssente za myezi 3 gyokka.
Okusinziira ku kunoonyereza kulaga nti wiiki ewedde Wabwire yagenda ku Offiisi za TFS Financial Services ku Raja Chambers okumanya ssente meka ezimubangibwa nebamugamba nti abagibwa 2,130,000/= ye zagamba nti zaali nnyingi nasalawo okutta Director.
Famire y’omuserikale wa Uganda Police Force , PC Ivan Wabwire eyakubye omuyindi omuwozi w’ensimbi amasasi etegeezezza nga omwana wabwe bwalina ekikyamu ku mutwe era nga yali tasaana kuweebwa mulimu gwetaagisa kukwata mmundu.
Kenneth Ojambo ng’ono ye taata wa Wabwire agamba nti mutabani we okuva mu 2008 abadde ajjanjabibwa ekirwadde ky’omutwe era nga byonna byeyakoze y’abadde tategeera bulungi.
Ebigambo bya famire bireeseewo okukoonagana nebya Poliisi eyategeezezza nga Wabwire omutwe gwe bweguli omulamu oluvannyuma lw’okukeberebwa.

