Eyakwatira ekibiina kya Forum for Democratic Change – FDC bendera ku kifo ky’obwa Pulezidenti mu kalulu ka 2016 Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye avuddeyo nategeeza nga bwakyalina obujulizi obulaga nti akalulu ka 2016 yawangula Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku bwa Pulezidenti.
Bino abyogeredde mu Kakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission nga kakubirizibwa Ssentebe waako, Mariam Wangadya, ku musango gweyawaaba mu 2016 ngalanga Uganda Police Force wamu n’eggye lya UPDF eyali eduumirwa AIGP Felix Kaweesi bwebamenya offiisi za FDC nebakwata Gen. Mugisha Muntu ne Ingrid Turinawe. Ono agamba nti yakwatibwa bubi nnyo era navunaanibwa wabula taweebwa nga mukisa kwewozaako yadde okumusingisa omusango kyagamba nti bamuyigganya lwabyabufuzi.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
ON AIRView Details →
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
ON AIRView Details →
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
ON AIRView Details →
