Offiisi ya Ssaabaminisita etegese okusaba okwenjawulo okwokwebaza olw’obulamu n’emirimu Katonda byakozesezza abadde omuteesiteesi omukulu mu Offiisi eno Keith Muhakanizi eyafa gyebuvuddeko nga yafiira mu Ggwanga lya Yitale. Okusaba kuno kukulembeddwamu Provost wa All Saints e Nakasero, Rev. Can. Rebecca Nyegenye.
Waliwo famire e Lyantonde eddukidde mu Kkooti Enkulu e Masaka ngewakanya ekyokuziika abadde Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Offiisi ya Ssaabaminisita Keith Muhakanizi ku ttaka lyebakaayanira.
Geoffrey Bwambizo ataddeyo omusango mu Kkooti Enkulu e Masaka ngagamba nti Muhakanizi yatwala ettaka lye eriwereza ddala yiika 152. Waliwo n’omutuuze omulala Moses Kakuru akayinira ettaka lyerimu.

