Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Twatuuse bulungi e Seattle, gye tugenda okusisinkanira abantu ba Beene abakuŋŋaanye okwetaba mu lukuŋŋaana lwa Buganda Bumu North American Convention, nga ku mulundi guno, tuzze okwaŋŋanga ekizibu ky’ebbula ly’Amazzi amayonjo mu Buganda.”
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza ebyuuma ebizikiriza omuliro mu Masiro e Kasubi. Bw’abadde atongoza ebyuma bino olwaleero e Kasubi mu masiro, Katikkiro yeebazizza Gavumenti ya Japan eyavujjiridde enteekateeka eno, bwe yawaayo $500,000, ng’eyita mu UNESCO, okugula ebyuma n’okubisiba mu masiro.
Agambye nti abaweereza mu masiro basomeseddwa ku nkozesa y’ebyuma, kyokka abakugu baakugira basigalawo, babangule n’abasula mu masiro.
Katikkiro annyonnyodde nti omulimu ku Muzibu-Azaala-Mpanga, gutambudde mpola, olw’emitendera, obulombolombo n’ennono ebiyitwamu okugazimba, ssaako n’okukozesa abantu abatuufu ab’ennono ku mulimu ogwo.
Katikkiro e Kasubi abaddeyo ne baminista awamu n’abakungu abavudde ku kitebe kya UNESCO, e Paris, France.
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Siri musawo era si nze muntu alina okujanjaba Kabaka naye kyensobola okubakakasa nti buli Kabaka bwalwala afuna obujanjabi obwekikugu okuva mu basawo abasinga.
Obulamu bwomuntu kiba kyaama kye era sirina lwenja kuvaayo okwogera ku byobulamu bwa Kabaka.”
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Kikyaamu okulowooza nti nina obukuubagano ne Nnabagereka wa Buganda. Saaliwo kukutongoza akatabo ke kuba nali ku luwummula lw’emirimu. Mmwe abasobodde okusoma akatabo mujja kukizuula nti nze nawandiika ‘forward’. Mpagira Maama Nnabagereka era mpagidde nnyo ppolojekiti ze omuli e Kisakaate.”
#katikkiromayigaat10

