BREAKING NEWS
Observer: Minister Anite urges boda boda riders to save for the future Observer: Woman arrested with over 100kgs of marijuana in Arua Pulse Uganda: Who is Lina Zedriga, the woman chosen to lead NUP in Bobi Wine’s absence? East News: KAMPALA: Two Women Arrested For Impersonating Landowner to Process Loan East News: Namisindwa Parish Chiefs Protest Shs179M Allowance Delay Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso MBU: Unilever Uganda, Pepsodent Oral Health campaign targets 100,000 pupils in Central Uganda MBU: Smirnoff Fiesta, Etania bring unforgettable energy to Bbosa Hostel courtyard in Nkozi

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bannayuganda naddala Abazzukulu, mbalamusizza. Kati enaku ziri 7 okuva lwenakeberebwa nensagibwa n’ekirwadde kya COVID-19. Nga bwenabategeezezza olunaku lw’eggulo nti nali siwulira bulwadde naye nali mpuliramu olusujjasujja. Mpulira nti kekaseera nveeyo mukweyawula. Wabula olwaleero nzizeemu okwekebeza era nga nkyalina COVID-19. Ekyomukisa Maama Janet Kataaha Museveni ye tamulina kuba tugoberera ebiragiro.
Eyayogeddeko nange ku Social media n’abalala benayogedde nabo ku ssimu, babadde bangamba nti okwekebeza oluvannyuma lwenaku 4 oba wiiki mbeera mpapye, wabula nabadde nina okukikola kuba nabadde nina okubeera ne ba Pulezidenti abalala 6 okuva mu Afirika okuli owa; Comoros, Egypt, South Africa, Senegal, Congo- Brazzaville ne Zambia nga tubadde tulina okubeera e Poland enkya olwo tulinnye eggaali y’omukka okugenda e Kiev okugezaako okutabaganya Russia ne Ukraine. Mbadde nina okubeera nabo naye mbaweereza obubaka nebategeeza nti nsindise Dr. Rugunda ankiikirire era nga ali Poland kati.
Olwokuba sigenda Kiev ne Russia, njakusobola okwogerako eri Palamenti enkya nga nesudde ebbanga lya mita 300 ku lunaku lwokusoma embalirira, kati obuvunaanyizibwa mbukwasizza VP Alupo. Olwokuba sitambula, ajja kulambula enyiriri z’amaggye olwo nze njakuwa obubaka obusembayo ku nkomerero y’okusoma embalirira.
Ntaddeko omukono;
Yoweri K. Museveni Ssaabalwanyi”

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nsambajja amawulire agatambuzibwa nga bwali omulwadde ennyo nga mu kadde kano ali mu kasenge k’abayi (ICU). Museveni asabye Bannayuganda bongera okumusabira kuba embeera eno wakugivvunuka era tali bubi.

Burora Herbert Anderson enkya yaleero akedde kukunga Bannayuganda abalina omutima omusaasizi okugenda ku mulyango gwa State House e Nakasero okuwandiika obubaka obusaasira eri Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ssaako n’okumwagaliza okussuuka amangu ekirwadde kya COVID-19.
Ono agamba nti obubaka busobola okuba obw’ebimuli, obuwandiika, kkaadi n’obuganzika okuliraana banner eteekeddwawo.