Mukyala Jane Barekye ku lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yatwalidde Taata w’omugenzi Ibrahim Tusibira aka Isma Olaxess aka Jajja Ichuli, Hajji Muhammad Kasajja ne Maama we Hajjat Kasajja amataaba wamu n’obubaka obukubagiza. Ichuli yattibwa ku lw’omukaaga ekiro era naziikibwa enkeera ku Sunday e Nkokonjeru. Poliisi egamba nti yakakwata abantu 3 okuli nabadde Ddereeva we Waswa bagiyambeko mukunoonyereza.
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza ng’abantu 3 okuli Waswa ngono abadde Ddereeva wa Isma Olaxess aka Jajja Ichuli bagiyambeko mukunoonyereza ku kukuttibwa kwa Jajja Ichuli eyakubwa amasasi.
Enanga agamba nti Isma eyamutta yakozesa basitoola.

