BREAKING NEWS
East News: JUST IN: Suspected Vandal Electrocuted Climbing High-Voltage Transmission Tower in Lugazi MBU: Smirnoff Fiesta, Etania bring unforgettable energy to Bbosa Hostel courtyard in Nkozi East News: Gov’t Sets Commencement Date for Cattle Restocking in Teso, Lango, Acholi Regions Red Pepper: EC Gambles on Kamugisha as Dossier Exposes Mismanaged Billions, Weak Policies, Questionable Deals & An Outdated 2013 ICT System MBU: Prim Asiimwe: Would date A Pass if he wasn’t a “brother” Red Pepper: CICD Uganda Launches Livelihood Development Accelerator Program to Boost Tourism in Buhweju District Observer: Bobi Wine flees to exile ‘over personal safety’ Observer: Hunger: Over 274 K’jong girls ‘rescued’ in Agago

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Mukyala Jane Barekye ku lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yatwalidde Taata w’omugenzi Ibrahim Tusibira aka Isma Olaxess aka Jajja Ichuli, Hajji Muhammad Kasajja ne Maama we Hajjat Kasajja amataaba wamu n’obubaka obukubagiza. Ichuli yattibwa ku lw’omukaaga ekiro era naziikibwa enkeera ku Sunday e Nkokonjeru. Poliisi egamba nti yakakwata abantu 3 okuli nabadde Ddereeva we Waswa bagiyambeko mukunoonyereza.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bannayuganda naddala Abazzukulu, nga kitalo ekya Ibrahim Tusubira aka Ismba Ichuli. Nvumirira ekyokutta Bannayuganda ekikolebwa embizzi ezimu. Mbizzi zezirowooleza mukutta abantu nga zikozesa emmundu ku bantu abatalina mmundu. National Resistance Movement – NRM ennyumirwa nnyo okuwangula abagivuganya ngeyita mukukubaganya ebirowoozo. Okutta abakuwakanya kiraga nti oli mutitiizi, bwomutta olwokuba mukyaamu olwo ggwe kikufuura omutuufu?
Abatemu tebalowooza. Njagala okukakasa Bannayuganda nti abakikoze bagenda kunoonyezebwa era tubabategeeze. Mujjukira abebijambita e Masaka? Bangi bagambibwa okutta abantu bano bali mu Kkooti bavunaanibwa. Mujjukira ekibinja kya Kiddawalime?
Abamu ku bbo bafu oba bali mu kkomera. Kiddawalime ye mufu. Mpeerezza amataaba eri abafamire era State House Comptroller wakuzitwala yo. Nsaasidde nnyo aba famire ya Isma era tuli wamu nammwe era omutemu oyo wakubonerezebwa.
Ngenda kusaba Natasha anoonye ebifaananyi by’abantu baffe abattibwa Idi Amin nabatta mu lujudde mu February, 1973. Bano kwaliko; Masaba ne Namirundu e Mbale; Nkoko ne Ntale e Jinja; waliwo omu omubbi e Kampala wabula nga teyali wa FRONASA; Obwona ne Labeja e Gulu; Malibo ne Kasolo e Fort- Portal; Karuhaanga aka Muharaabu, omusomesa w’okubala e Mbarara; Karambuzi, Bitwaali ne Kangire e Kabale. Amin kyamuyambira wa? Aliwa kati era yakomekereza atya nabo abaali bamuwagira? Abatta abantu bonna mbizzi.”
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza ng’abantu 3 okuli Waswa ngono abadde Ddereeva wa Isma Olaxess aka Jajja Ichuli bagiyambeko mukunoonyereza ku kukuttibwa kwa Jajja Ichuli eyakubwa amasasi.
Enanga agamba nti Isma eyamutta yakozesa basitoola.
Tusuubira Isma aka Isma Olaxess aka Isma Kalevu aka Jajja Iculi1 asindikiddwa mu ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutuusa olunaku olw’enkya bwenateekamu okusaba okweyimirirwa. Ono avunaanibwa okulebula omuyimbi Os Suna bwebaali ku TV ne Keyz, Brian Wakko wamu ne Makko abasindikibwa ku alimanda ku lunaku olwokutaano. https://youtu.be/vmYNeLlK7L4