Sipiika wa Palamenti Anita Among olunaku olwaleero akirizza okulondebwa kw’Omubaka Yusuf Nsibambi akiikirira Mawokota South nga Nampala w’Ababaka ba Forum for Democratic Change omuggya oluvannyuma lwokugobebwa kwa Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda akiikirira Kira Municipality ngono yagobwa Ssaabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala – Mafabi.
Omukulembeze wa Forum for Democratic Change – FDC Patrick Oboi Amuriat avuddeyo nafulumya ekiwandiiko ngalaga nga bwebavudde mu kalulu k’ekifo kya Ssentebe wa Disitulikiti y’e Bukedea nga agamba nti obubbi bw’akalulu obwoleseddwa ekibiina kya National Resistance Movement – NRM bususse. Amuriat ategeezezza nti ba agenti b’omuntu waabwe bagenze okutuuka mu bifo webalondera ku ssaawa kumi na bbiri ezookumakya nga bokisi z’obululu zajjudde dda nga ne mu bifo ebimu basanze obukonge okulonderwa buweddewo.
Omubaka akiikirira Kira Municipality, Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda avuddeyo nawa Omubeezi wa Minisita ow’ebyenfuna avunaanyizibwa ku kuteekerateekera Eggwanga Amos Lugoloobi eyayimbulwa ku kakalu ka Kkooti ku nsonga ezekuusa ku bujanjabi okugenda afune obujanjabi nga bweyategeeza Kkooti.
Ssemujju agamba nti Lugoloobi eyaweebwamu akalembereza ate bwebamulaba nga akiikirira Gavumenti eyamusiba kijja kulemesa banne abalala okuteebwa ku kakalu ka Kkooti ku nsonga ezekuusa ku byobulamu.
Hon. Ibrahim Nganda Ssemujju; “Njagala kuzuula oba nga mu kawayiro 113 aka Ssemateeka, Pulezidenti awaabwe obuyinza okutuma Minisita emirimu emirala, olaba Pulezidenti asobola okutuma Minisita okuwerekera abaana be bwebagenda ku bubaga e Kigali oba ku bbiizi e Mombasa. Ekirala Pulezidenti alina abaana abawerako, tewewuunya enkya enkya ngatumye Hon. Ruth Nankabirwa okuwerekera muwala we ku bbiici e Moombasa. #PlenaryUg

