Bannakoodikoodi nga banyumirwa obulamu mu kkuumiro ly’entugga lye bayita “Giraffe Centre” eriri mu kibuga Nairobi. Enkya ya leero boolekera Mombosa nga bagenda kutambulira mu “Standard Gauge Railway.”
Abakontanyi abatuuse ku mpaka ezakamalirizo okuli; Musisi Bbosa Nseregganyi (Ndiga), Nampyangule Kisirisaafumba (Lugave) ne Ssempijja Nyasio Njakabwasi (Nte) bali mu lugendo lwa Kkoodi Kkoodi mu Ggwanga lya Kenya. Balindirire e Lugogo nga 4-December-2022.
Radio Simba n’omutima gwayo omugabi ekyagenda mu maaso nokuddiza abawuliriza baayo. Noolwaleero ewadde abawuliriza baayo ebintu ebikozesebwa mu masomero omuli hamper ya Movit Products, emifaliso gya Vita foam, eddagala lyamannyo erya Stardent, ebitaala bya Solar okuva mu DT Solar, ebitabo okuva mu Namanve Industries n’ebirala bingi.

