Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda kavuddeyo nekategeeza nga abantu 4 olunaku olwaleero bwebewandiisizza ku lunaku olusoose okuvuganya okujjuza ekifo ky’Omubaka wa Oyam County North Constituency, mu Disitulikiti ya Oyam.
Abewandiisizza kuliko;
1. Apio Otuko Eunice (UPC);
2. Okello Freddy Newton (FDC);
3. Engola Okello Samuel (NRM) ne
4. Okello Daniel (NUP).
Okwewandiisa kukoma nga 20 June 2023.
Mutabani w’omugenzi Minisita Engola, Charles Engola Jnr ku lw’abaana b’omugenzi avuddeyo nategeeza; “Kitaffe yatusomesa okusonyiwa. Njagala okutwala omukisa guno okusonyiwa Pte Wilson Sabiiti.” Pte Sabiiti yakuba Minisita Engola amasasi agamuttirawo nga 2-May mu maka ga Minisita e Kisaasi. Okusinziira ku muganda w’omugenzi nga ye Samuel Engola agamba nti muganda we bamusanzeemu amasasi 28 agamukubibwa.

