Mukwenda Deo Kagimu n’Abamyuka be, batuuziddwa mu butongole mu bifo byabwe. Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, kulwa Katikkiro yaakoze omukolo ogw’okubatuuza nga ayambibwako Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru Oweek. Joseph Kawuki.
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Twatuuse bulungi e Seattle, gye tugenda okusisinkanira abantu ba Beene abakuŋŋaanye okwetaba mu lukuŋŋaana lwa Buganda Bumu North American Convention, nga ku mulundi guno, tuzze okwaŋŋanga ekizibu ky’ebbula ly’Amazzi amayonjo mu Buganda.”
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Siri musawo era si nze muntu alina okujanjaba Kabaka naye kyensobola okubakakasa nti buli Kabaka bwalwala afuna obujanjabi obwekikugu okuva mu basawo abasinga.
Obulamu bwomuntu kiba kyaama kye era sirina lwenja kuvaayo okwogera ku byobulamu bwa Kabaka.”
Emyaka 10 Katikkiro Charles Peter Mayiga gyamaze ngaweereza Obuganda; “Ensimbi eziyingizibwa mu Ggwanika lya Buganda zeeyongedde. Ettoffaali ly’avaamu obuwumbi 9 ne zikola bbugwe w’Amasiro g’e Kasubi ne Muzibaazaalampanga anaatera okuggwa. Oluwalo olwakavaamu nga obuwumbi 2. 2. Embalirira y’Obwakabaka erinnye n’etuuka ku bitundu 45%. Embalirira y’Obwakabaka erinnye n’etuuka ku bitundu 45%. Entambuza y’ebyensimbi etereezeddwa nga kati akawunti za Minisitule zonna zitambuzibwa n’okulondoolwa Eggwanika.
Ebizimbe Masengere; Ndiwulira (e Makindye); Owembuya (Kasangati), bizimbiddwa. Emikago ne bamusiga nsimbi gibangiddwawo, n’ekiyambako ku nnyingiza; Airtel; Guoji Corporation (ezimba amayumba e Kigo n’e Ssentema), Uganda Breweries Limited (abasogola Ngule) ne BICUL yazzibwa buggya.
Amakampuni nga BBS TV; Namulondo Investments, Majestic Brands, K2 Telecom; Bboodi y’Obulambuzi n’Ennono (Buganda Heritage & Tourism Board) Emmwanyi Terimba Ltd; Weerinde Insurance Services, gatondeddwawo. Amakampuni gano gawadde abavubuka abawerako emirimu.”

